Omuyima wa Bodaboda 2010 Abdullah Kitatta asingisiddwa omusango gw’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka mu kkooti y’amaggye etuula e Makindye ebadde ekubirizibwa Lt Gen Andrew Gutti.
Ngobi Sowali eyali omukuumi wa Kitatta, naye omusango gw’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka gumusse mu vvi.
Ate omusango gw’okusangibwa n’ebyambalo by’amagye mu bukyamu omuli obukofiira, Kitatta ne banne gubagiddwako.
Kkooti y’amaggye era yejjereza abantu munaana (8) abakwatibwa ne Kitatta omuli Joel Kibirige, Matia Ssenfuka, Hassan Ssebatta, John Ssebandeke, Hussein Mugema, Fred Bwanika, Amon Twinomujuni ne Ibrahim Ssekajja era ssentebbe wa kkooti Lt Gen Andrew Gutti, agambye nti oludda oluwaabi lwalemeddwa okuleeta obujjulizi obulaga nti abakwate basangibwa n’ebyambalo by’amaggye.

Kkooti egamba nti tewali kubusabuusa kwonna, obujjulizi obwaletebwa mu kkooti bulaga nti Kitatta ne munne Ngobi baalina emmundu omuli ekika kya pisito (Basitoola) eya golodi ne kika kya SMG ssaako n’amasasi agasukka 30.
Omulamuzi alangiridde olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri nga 14, May, 2019 okulangirira ekibonerezo kya Kitatta ne munne Sowali era bonna baziddwayo ku limanda mu kkomera e Luzira.

Wabula munnamateeka wa Kitatta ne Ngobi, Shaban Sanywa asabye omulamuzi okuwa abantu be ekibonerezo ekisamusaamu kuba basajja abagondera amateeka, balina abakyala n’abaana nga balina obuvunaanyizibwa bungi ddala ate Kitatta akoledde ekibiina kya NRM ebirungi bingi era abadde ssentebbe wa NRM e Lubaga.