Poliisi eyongedde okunyweza ebyokwerinda ku kyalo Kapeke mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono ng’ebula ssaawa mbale, abalongo ba Minisita omubeezi ku nsonga z’amazzi Ronald Kibuule okuziikibwa.
Abalongo baafiiridde mu kidiba ky’amazzi ekiwugirwamu, akawungeezi k’olunnaku olwa mmande, mu maka ga minisita Kibuule agasaangibwa ku kyaalo Kasenge mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono nga baafiiridde ku myaka 2 n’emyezi 5.










