Kyaddaki omutwe omukulu agambibwa okulembera okuwamba n’okutta Susan Magara bamukomezaawo mu Uganda.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Fred Enanga Patrick Kasaija amanyikiddwa nga Patrick Agaba, agiddwa mu ggwanga erya South Africa era mu kiseera kino, ali ku kitebe kya Poliisi ekinoonyereza ku misango ekya Special Investigations Division (SID) e Kireka.
Agaba abadde ayigibwa Poliisi y’ensi yonna okuva March wa 2018 oluvanyuma lwa Susan Magara okuwambibwa n’attibwa nga 7, February, 2018.
Kigambibwa Agaba yakulemberamu akabinja, okuwamba Susan Magara ne ssente ezaali biriyoni mu 3 kyokka baamutta oluvanyuma lw’abazadde okusindikako ssente obukadde 700.
Agaba babadde bamukwatira mu ggwanga erya South Africa kyokka obutabaawo nzikiriziganya ku ky’okutambuza abasibe wakati wa Uganda ne South Africa y’emu ku nsonga lwaki okumuzza mu Uganda kikutte ebbanga eriwera.