Poliisi y’e Makasa ekutte abantu babiri bannansi ba Congo ku by’okubba abatuuze nga beeyambisa emmundu.

Abakwate bali ku kitebe kya Poliisi e Makasa (CPS) era basangiddwa ne ndaga muntu z’eggwanga ez’ ebikyupuli.

Omu ku bakwattiddwa, abadde akola ng’omufumbi w’emmere ku Good Foundation Primary School mu kibuga Nyendo mu disitulikiti ye Masaka era bakwattiddwa mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi n’amaggye.

Okusinzira ku Flavia Terimurungi omwogezi w’akabinja akalwanyisa abazigu b’emmundu mu bitundu bye Masaka aka Masaka Armoured Brigade, okuva mu Febwali wa 2019, abantu bataano (5) battiddwa, abasukka 15 batuusiddwako ebisago olw’abazigu abalina emmundu ng’abatigomya abatuuze omuli aba madduuka, Mobile Money, okubba emmotoka, bodaboda n’ebintu ebirala.

Terimurungi agamba nti abakwate, bagenda kubayambako okunoonya abalala.