Kkooti enkulu mu Kampala eragidde Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi akwatibwe mu bwangu lwa bbanja lya bukadde 100
Okusinzira ku kiwandiiko ekiteekeddwako omukono gw’amyuka omuwandiisi wa kkooti Deo Nzeyimana, Minisita Kiwanda alemeddwa okutuukiriza obweyamo bw’okusasula ebbanja era ekiwandiiko kiwadde olukusa Kiwanda okukwatibwa singa alabwako mu kifo kyonna.
Kigambibwa Minisita Kiwanda yewola ssente mu 2011 ku magoba ga bitundu 24 buli mwaka kyokka alemeddwa okusasula, ekiviriddeko ssente okuwera obukadde 100.
Wabula Minisita Kiwanda awakanyizza ebyogerwa nti abanjibwa wadde 100.
Singa Minisita Kiwanda akwatibwa n’asindikibwa e Luzira, ayolekedde okusisinkana Abdullah Kitatta owa bodaboda 2010 eyasindikiddwa mu nkomyo emyaka 8.
