Poliisi eyimbudde abantu 4 abakwattiddwa, oluvanyuma lw’abalongo ba Minisita minisita omubeezi ow’ebyamazzi Ronald Kibuule, Rayden Waswa ne Raymond Kato okufa akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande nga 13, May, 2019.
Abayimbuddwa okuva ku Poliisi e Mukono kuliko Nalubwama Scovia omukozi w’awaka, Nankunda Peace, Lawrence Kibaya omulenzi akola emirimu gy’awaka ssaako n’omukuumi Kumanya Agripa.

Oluvanyuma lw’okwatibwa, bonna bagulwako omusango gw’obulagajjavu ku bigambibwa nti bonna baali waka kyokka baalemwa okutaasa abalongo ne bafiira mu kidiba ky’amazzi ekiwugirwamu mu maka ga minisita Kibuule agasangibwa ku kyalo Mbalala mu disitulikiti y’e Mukono.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Minisita Kibuule alagidde abakwatibwa baayimbulwa kuba bonna abasonyiye, ekiwadde essanyu bonna abaali abakwattiddwa.
Kibuule agamba nti ensonga z’abalongo okufa yazikwasizza Omutonzi era kiteberezebwa y’emu ku nsonga lwaki bonna abaali bakwattiddwa, asabye Poliisi bateebwe nga tebaguddwaako musango gwonna.