Minisita omubeezi ow’ebyamazzi Ronald Kibuule alangiridde nti obulamu bwe obukwasiza Omutonzi kuba ly’ekkubo lyokka ly’alina okuyitamu okuddamu okulaba ku balongo be Rayden Waswa ne Raymond Kato.

Abalongo bafudde akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande nga 13, May, 2019 oluvanyuma lw’okuggwa mu kidiba ky’amazzi ekiwugirwamu mu maka ga minisita Kibuule agasangibwa ku kyalo Mbalala mu disitulikiti y’e Mukono era bazikiddwa mu kitiibwa ku Lwokusatu.

Minisita Kibuule bwe yabadde ayogerako eri abakungubazi, yalangiridde ebintu bibiri byasigadde okukolerera mu bulamu bwe.

Agamba nti alina okukola ennyo, okugenda mu ggulu asobole okufuna omukisa okuddamu okulaba ku balongo be kuba ku myaka ebbiri n’emyezi etaano, babadde tebalina kibi kyonna era bonna bageenze mu ggulu.

Mungeri y’emu agambye nti alina omukisa okuddamu okufuna abalongo abalala kuba Nalongo akyaliwo ate bakyalina obulamu. Kibuule agamba nti Omutonzi eyamuwa abalongo abafudde, asobola bulungi nnyo okuddamu okumuwa abalala.