Omuyimbi Senyonjo Patrick amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7, agudde mu bintu, muto munne Oratilwe Hlongwane amanyikiddwa nga DJ Arch Jnr myaka 6, bw’akirizza okukola kolabo.

DJ Arch Jnr okuva mu ggwanga erya South Africa ku myaka 6, awangudde ‘Award’ ezenjawulo era asobodde okufuna ssente okuva mu bivvulu ebyenjawulo.

DJ Arch Jnr
DJ Arch Jnr

Ku ntandikwa y’omwaka gunno, Fresh Kid yafulumya oluyimba ‘Bambi’ ng’asaba Minisita omubeezi ow’ensonga z’abavubuka n’abaana mu gavumenti eya wakati Florence Nakiwala Kiyingi okumukiriza okuyimba kuba naye alina abaana balabirako omuli ne DJ Arch Jnr.

Mu mbeera eyo, DJ Arch Jnr asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okutegeeza Fresh Kid nti ye yetegese bulungi okumuwa kolabo kuba kigenda kuyamba okulaga talenti eri mu baana mu Africa, “Ready when you are my brother @FreshKidUG , let’s show them what African kids are all about“.