Wadde Uganda y’emu ku nsi ezirina abawala abatono abalungi, kyewunyisa nti mu nsi yonna, bategeera okunyumisa akaboozi era y’emu ku nsonga lwaki basikiriza abasajja abangi okuva mu nsi ezenjawulo.

Wosomera bino, ng’omutanzaniya omuyimbi Hennesseyy yegumbulidde okukamula Juyisi mu vuvuzera z’ebyana binnayuganda.

Hennesseyy ne Nicol
Hennesseyy ne Nicol

Hennesseyy afunye ekyana Teta Nicol era amaliridde okukola kyonna ekisoboka, okukikuba embaga.

Nicol kati amanyikiddwa nnyo mu Uganda oluvanyuma lw’okutandiika okukyaza ebivvulu mu bbaala ya ‘Normad’ e Bunga ng’ali ne mukwano gwe Charity Kamikazi buli Lwamukaaga.

Hennesseyy ne Nicol
Hennesseyy ne Nicol

Nicol atuukiriza enjogera nti ‘namuswa arya kuswa zee’ kuba yeyakulembeddemu okukyaza Hennesseyy mu Uganda gye buvuddeko nga manejja kyokka oluvanyuma balabiddwako nga bakukuta nga Hennesseyy waaya emwekyangidde olwa Nicol okumulaga ekithambi ekyamyuka ng’ettungulu.

Oluvanyuma lwa Zari Hassan okwawukana ne Diamond Platnumz mu 2017, Hennesseyy amaliridde okutwala Nicol mu ggwanga erya Tanzania kuba atuukiridde mu mbeera yonna ate mu kiseera kino bannayuganda bangi besuunga okuddamu okufuna Omuko alina waaya gye beesiga okumatiza omwana waabwe.