Omukyala Zari Hassan azzeemu okulondebwa ng’omu ku balamuzi mu mpaka za Miss Uganda ku ntiiko y’omukolo nga 27, July, 2019 ku Sheraton Hotel mu Kampala.

Okusinzira ku ssenkulu w’ekibiina ekinoonya Miss Uganda Brenda Nanyonjo, okuwandiisa abawala abagenda okuvuganya kutandiika Mmande nga 27, May, 2019 mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Omwaka oguwedde ogwa 2018, Uganda yafuna omukisa, Nnalulungi wa Uganda (Miss Uganda) Quiin Abenakyo bwe yawangula ekya Miss Africa era ku mulundi gunno, Nanyonjo agamba nti balina esuubi nti omuwala anawangula obwa Miss Uganda 2019, asobola bulungi nnyo naye okuwangula obwa Miss Africa oba Miss World.

Zari okumukomyawo okulamula eza Miss Uganda 2019, kabonero akalaga nti bangi ku bannayuganda abakyala bamukiririzaamu nnyo ate y’omu ku bakyala abaweebwa ekitiibwa.