Paasita Wilson Bugembe owa Light the World Church e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti eggwanga lyonna lyetaaga kusabirwa okusobola okulwanyisa obusiwuufu bw’empisa n’okusingira ddala mu bavubuka.
Paasita Bugembe agamba nti omukyala Aidah Nalweyiso okuvaayo okugamba nti alina omwana we, kabonero akalaga nti eggwanga lyetaaga kusabirwa.
Nalweyiso yatadde akatambi ku mutimbagano gwa yintaneeti ng’alumiriza paasita Bugembe okumuzaalamu omwana kyokka alemeddwa okumuwa obuyambi ate ng’omwana yetaaga eby’okulya. Nalweyiso era agamba nti asabira mu kkanisa ya Paasita Bugembe okumala emyaka egiwera.
Wabula Paasita Bugembe agamba nti obwavu busindikiriza abantu okunoonya ssente mu ngeri zonna nga beeyambisa emitimbagano gya yintanenti n’obukodyo obwenjawulo.
Mungeri y’emu agamba nti Nalweyiso kirabika waliwo omuntu amukozesa n’ekigendererwa eky’okutattana erinnya lye kyokka byonna byetaaga kusabirwa.
Paasita Bugembe agamba nti gw’ali mulundi gumu gwokka okufuna akatambi nga Nalweyiso agamba nti alina omwana we, era yatandikirawo okusaba.