Poliisi etandise ku okunoonyereza ku ttemu erigambibwa okukolebwa amagye ga Rwanda agaayingidde mu Uganda negatemula abasuubuzi.
Okusinziira ku Poliisi waliwo omusuubuzi eyakubiddwa ebyasi ebyamutiddewo nga ababadde bazze okumutaasa naye babasse.
Kino kitabudde gavumenti ya Uganda, era Minisitule y’ensonga z’Amawanga amalala wano mu Uganda emaze okuwandiikira Rwanda ng’eyagala okufuna okunyonyolwa ku nsonga eyo mu bwangu ddala.
Ate Fred Enanga omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti batandiise okunoonyereza okuzuula ku kikolwa ekyakoleddwa okutta abantu.
Enanga agamba nti ku battiddwa kuliko munnayuganda omu ne munnansi wa Rwanda mu katawuni k’e Hamisavu ku kyalo Kiruhura mu ggombolola y’e Kamwezi mu disitulikiti y’e Rukiga ku Lwokutaano nga 24, May, 2019 ku ssaawa 2 ez’ekiro.
Kiwandiiko kya Poliisi
