Mu nsi y’omukwano, buli muntu yenna alina okunoonya omuntu omutuufu okumusanyusa mu nsonga z’omu kisenge n’okumuwa obulamu obulungi.
Mu mbeera eyo, ne Zari mu kiseera kino yafunye omusajja omutuufu amutegeera obulungi okumwerabiza eyali bba Diamond Platnumz.

Muganzi wa Zari, musajja akola emirimu egyenjawulo omuli obusuubuzi era alina kampuni y’eby’okuzimbisibwa mu ggwanga erya South Africa.
Mu mbeera eyo, Zari alaze nti ategeera kye bayita omukwano kuba asobodde okuwa mugazi we obudde wadde alina emirimu egy’enjawulo kuba essanyu mu baagalana nsonga nkulu nnyo.
Mungeri y’emu asobodde okukola ebintu eby’enjawulo okulumya eyali bba Platnumz nti wadde yamuzaalira abaana babiri (2) akyalinamu Juyisi era y’emu ku nsonga lwaki bangi ku basajja bamwegomba.