Omuyimbi Rema Namakula alina amagezi gawadde abantu ab’enjawulo mu bulamu bwa buligyo.
Rema agamba nti omuntu yenna singa akukola ekintu ekikyamu, olina kumukwasa Mutonzi okusinga okumudiza.
Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram era ebigambo bye bivudde mu kitabo ekitukuvu ekya kuluhani.
Ebigambo bya Rema, kabonero akalaga nti alina abantu bangi nga yabeesonyiwa kyokka entalo yazikwasa Omutonzi kuba ye talina bigambo ate yakuzibwa bulungi okuva mu bazadde.
