Mwana muwala Tanasha Donna alaze lwaki muganzi we Diamond Platnumz amwagala nnyo era tewali mbeera yonna lwaki ayinza kumukyawa.
Tanasha yagwa mu mukwano ne Platnumz mu 2018 oluvanyuma lwa Zari Hassan okwawukana ne Platnumz nga balina abaana babiri (2).
Mu mbeera eyo, Tanasha asobodde okweyambisa omukutu ogwa instagram era agambye nti empisa enungi kyekisinga byonna mu bulamu bw’ensi eno n’okutuuka ku bintu ebyenjawulo, “Self discipline is the bridge between goals and accomplishment“.
Ebigambo bya Tanasha kabonero akalaga nti empisa ze enungi y’emu ku nsonga lwaki yawangula omutima gwa Platnumz okumwerabiza Zari mu mbeera yonna.