Omulamuzi wa City Hall mu Kampala Valerian Tuhimbise asindise ku Limanda e Luzira omusirikale Samuel Okot ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Okot, musirikale ku Poliisi y’e Mawanda era mu kkooti takiriziddwa kwogera kigambo kyonna kuba ali ku musango gwa naggomola.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 25, May, 2019, Omusirikale Okot yasobya ku mwana myaka 16 eyali ku Poliisi y’e Mawanda era ku misango gy’okumusobyako.
Oludda oluwaabi lukyanoonyereza ekiwaliriza omulamuzi okwongezaayo omusango ogwo okutuusa nga 20, June, 2019, era omusirikale Okot asindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Luzira.