Ssemaka Vincent Owor myaka 46 yetugidde mu nju, ku kyalo Ngomraa mu ggoombolola y’e Atiak mu Disitulikiti y’e Amuru, ekitabudde abatuuze.
Okusinzira ku neyiba Madalena Atto, obutakaanya wakati w’omukyala Alice Aciro ne bba Owor, y’emu ku nsonga lwaki, mukwano gwe akomekereza yetugidde mu nju.
Omulambo gwa ssemaka, gusangiddwa nga gulengejja mu kasisira kaabwe, oluvanyuma lw’omukyala okunoba akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, nafuna enju okumpi n’awaka.
Abatuuze bavudde mu mbeera ne boogera ebisongovu, ssemaka Owor okwetta naleeta ebisiraana ku kitundu kyabwe.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa Jimmy Patrick Okema, agambye nti Poliisi atandiise okunoonyereza, ensonga entuufu evuddeko ssemaka okwetta.