Eyali omukulembeze w’eggwanga erya Egypt Mohammed Morsi azikiddwa enkya ya leero ku Lwokubiri ebuvanjuba bw’ekibuga Cairo.
Morsi myaka 67 yafudde olunnaku olw’eggulo bwe yabadde mu kkooti ku misango egy’enjawulo.
Okuziika kwetabiddwamu abantu ab’enjawulo omuli abakulembeze mu by’obufuzi, aba famire, abakulu mu ddini n’abantu abalala.
Wabula abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu mu ggwanga erya Egypt bavumiridde engeri Morsi gye yafiiridde mu kkooti. Bagamba kimenya amateeka omuntu yenna okumutwala mu kkooti nga mulwadde era basabye Gavumenti okunoonyereza ekituufu ekyaviriddeko Morsi okufa.
Morsi abadde mu kkomera okuva mu 2013 oluvanyuma lw’okugibwa mu buyinza.
Amagye nga gakulemberwa Gen. Abdul Fattah al-Sisi, gaamamulako Morsi mu July wa 2013 lwa kwenyigira mu kutta abeekalakaasi baali bawakanya obukulembeze bwe mu kiseera ekyo.
Morsi yali omukulembeze bwa Egypt okuva June 30, 2012 – July 3, 2013.