Omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo wa kugira asula ku alimanda mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okukuma mu bantu omuliro ng’akozesa omutimbagano gwa ‘Face book’.

Mu kkooti, Bajjo eyakwatibwa ku lw’omukaaga nga 15, June, 2019 okuva ku Centenary Park nga yali ategese okwogerako eri bannamawulire ku nsonga z’okulemesa Bobi Wine okuyimba akandaaliridde omulamuzi ng’atalabikako okuva ku ssaawa mukaaga, bwatuuse ku ssaawa 11 n’ekitundu n’asomera Bajjo omusango.

Kyokka kkooti eyinza okuddamu okumusomera omusango wiiki ejja nga waliwo omutaputa abimuddiza mu Luganda asobole okubitegeera obulungi.

Emisango gimusomeddwa omulamuzi Stella Maris Amabirisi owa Buganda Road omuli okutaataganya eddembe ly’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni wabula nagwegaana kyokka oluvanyuma akirizza omusango gw’kukuma mu bantu muliro.

Wabula munnamateeka wa Bajjo, Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago  ategezeeza nti omulamuzi Amabirisi nti omuntu we yetaaga omutaputa okusobola okutegeera obulungi omusango.

Lukwago agamba nti Bajjo akirizza ogw’okukuma mu bantu omuliro lwa butamanya era kkooti erangiridde nga 25, June, 2019, omusango okuddamu okuwulirwa nga Bajjo afunye omutaputa.

Bajjo asindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Luzira wakati mu byokwerinda.