Omutegesi w’ebivvulu Balaam Barugahara avuddeyo ku nsonga z’okukwata Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo.

Bajjo olunnaku olw’eggulo, omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Stella Maris Amabirisi yamusindise ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 25, June, 2019 ku musango gw’okukuma mu bantu omuliro.

Wabula Balaam awadde Bajjo amagezi okusobola okuva mu kkomera gy’ali mu kiseera kino.

Balaam agamba nti Bajjo alina okwetondera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kuba ebigambo bye sibirungi mu matu g’abantu.

Mungeri y’emu agambye nti omuntu yenna alina okugondera Gavumenti eri mu buyinza okusobola okutambuza emirimu gye obulungi.

Bajjo okusindikibwa e Luzira, kidiridde omulamuzi Amabiris okumusomera emisango ebiri okuli ogw’okukuma omuliro mu bantu n’okwogera ebigambo ebigendereddwamu okunyiiza omukulembeze w’eggwanga (offensive communication).
Okusinzira ku ludda oluwaabi kigambibwa Bajjo yakuma omuliro mu bantu mu bitundu bya Kampala, Masaka ne Mbarara ng’ayita mu katambi ke yateeka ku ‘social media’.

Bajjo yakwatibwa ku Lwamukaaga lwa wiiki ewedde ab’ekitongole kya magye ekya ‘Presidential Protection Guard’ (PPG) bwe yabadde atuuzizza olukung’aana lwa bannamawulire ku Centenary Park ku bbaala ya Mix lounge ng’ali ne munne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex.