Mu nsi y’omukwano, omukyala alina okukola ebintu eby’enjawulo okusobola okuwangaza laavu wakati waabwe.

Mu mbeera eyo, Tanasha Donna Oketch alaze nti ye mwetegefu okukola kyonna ekisoboka okulaga muganzi we Omutanzaniya Diamond Platnumz nti alina laavu.

Ku Ssande, Tanasha yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwagaliza Platnumz olunnaku lwa bataata ekintu Zari Hassan ekyamulemye okutuukiriza.

Zari wadde yazaalira Platnumz abaana babiri (2) yagaanye okumwagaliza olunnaku lwa bataata ekintu Tanasha kye yakoze.

https://www.instagram.com/p/ByxniABAb2A/