Sylvia Namutebi abangi gwe bamanyi nga Maama Fiina akulira abasawo b’ekinnansi mu Uganda atabukidde bannayuganda abagamba nti Peng Peng yamukubye amatooke mu ggwanga erya Sweden, gye yagenze okulya obulamu.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, waliwo akatambi akaafulumye nga maama Fiina, Peng Peng n’abantu abalala baliko ekisenge kye balimu basala dansi.
Ekyasinze okwewunyisa abantu, Peng Peng obwedda azina ne maama Fiina nga tali mu ssaati era abamu kwekugamba nti Peng Peng yakubye maama Fiina amatooke.
Wabula Maama Fiina byonna abiwakanyizza era agambye nti yewuunya bannayuganda okuloworeza mu buseegu ku buli nsonga yonna.
Agamba nti yewuunyizza abantu okumulemerako nti yazinye ne Peng Peng ate nga nabo bazina.
Mungeri y’emu agambye nti Peng Peng yagyemu essaati kuba yabadde atamidde, “Nze sinywa mwenge naye newuunya abantu okugamba nti nabadde ntamidde, aboogera balina eddembe lyabwe naye balina okweddako n’okukomya okuwebuula abantu abalala”.