Sylvia Namutebi amanyikiddwa nga Maama Fiina awakanyiza ebyogerwa nti ekyamututte mu ggwanga erya Sweden, kusisinkana omuvubuka Peng Peng okulya obulamu.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, waliwo akatambi akaafulumye nga maama Fiina, Peng Peng n’abantu abalala baliko ekisenge kye balimu basala dansi.
Ekyasinze okwewunyisa abantu, Peng Peng obwedda azina ne maama Fiina nga tali mu ssaati era abamu kwekugamba nti Peng Peng yakubye maama Fiina amatooke
Wabula Maama Fiina agamba nti Peng Peng mwana muto ate mukwano gwe nnyo ate tekirimu sitaani okuzina naye.
Mungeri y’emu agambye nti abantu balina okukomya okulowooza ennyo ku buseegu ku nsonga zonna.
Ku nsonga eyo, abamu ku bannayuganda bagamba nti Peng Peng wadde yaggyemu n’essaati, yalemeddwa kumatiza Maama Fiina nti musajja kuba omusajja yenna eyakakasa obusajja, yabadde asobola bulungi nnyo okukuba Maama Fiina amatooke kuba mu vidiyo alaga nti yabadde agonze.
Mungeri y’emu bagamba nti Peng Peng wadde alina “6 pack”, yalemeddwa okumatiza Maama Fiina okumuwa ebintu.