Musajja mukulu Omar Risasi Ciruson ow’emyaka 70 akwattiddwa poliisi ku bigambibwa nti yakuba emmotoka ya pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ejjinja elyayasa endabirwamu nga 13/August/2018 mu kibuga kye Arua.
Risasi yayitiddwa ku poliisi okukola sitatimenti kyokka oluvanyuma poliisi nemuggalira.
Bwe yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi Isaac Kintu ow’eddaala erisooka mu kkooti y’e Gulu olunnaku olw’eggulo, yaguddwako omusango gw’okulya mu nsi olukwe.
Mu kkooti yabadde talina munnamateeka yenna era yasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Gulu okutuusa nga 4, July, 2019.
Kigambibwa nti ng’ali ne banne baakuba emmotoka ya Pulezidenti Museveni amayinja bwe baali mu kulonda kwa Arua Munisipaali mu August 2018.
Risasi lwanaakomawo mu kkooti asuubirwa okuvunaanibwa ne banne abalala 35 bwe bali ku musango gwe gumu ogw’okukuba emmotoka ya Pulezidenti amayinja n’okulya mu nsi olukwe.
Abavunaanibwa kuliko; Robert Kyagulanyi (Kyaddondo East) , Kasiano Wadri (Arua Munisipaali), Gerald Karuhanga (Ntungamo Munisipaali) n’abalala.