Dr Stella Nyanzi ayolekedde okuvundira mu kkomera e Luzira, oludda oluwaabi bwe lufundikidde okuwa obujjulizi ku misango egimuvunaanibwa.

Dr Nyanzi ali mu musango gw’okwogera ebigambo ebinyiiza Pulezidenti Museveni, okumuwemula n’okutyoboola ekitiibwa kye.

Oludda oluwaabi, luleese abajjulizi basatu (3) era omujulizi asembyeyo abadde ASP Harriet Kenyana okuva e Kibuli.

ASP Kenyana ategeezezza omulamuzi Gladys Kamasanyu owa kkooti ya Buganda Road nti, yaleme yalemwa okujja sitetimenti ku Dr. Nyanzi kuba mukyala mukambwe nnyo kuba yeegattibwako looya we Isaac Ssemakadde nga bakambwe bulala n’agezaako okumuggyako sitetimenti naye n’alemwa.

Mu kkooti, omujjulizi namba bbiri (2) yali looya Dalton Opwonya era yategeeza omulamuzi Kamasanyu yali awa Dr. Nyanzi ekitiibwa naye okuva lwe yeeyambulira e Makerere,  takyamuwa kitiibwa kyonna.

Omulamuzi Kamasanyu olunnaku olwaleero w’agenda okuwa ensala oba Dr. Nyanzi alina  omusaango yeewozeeko mu kkooti oba nedda.