Mu nsi y’omukwano, ebintu bingi bikyuka era singa omuntu yenna abeera mu laavu, ayinza okugejja n’okunyirira kyokka singa eggwawo, obulamu bukyuka.

Mu mbeera eyo, Rema Namakula wadde ali mu laavu ne Eddy Kenzo, alina okutya olw’ebigambo bya bba mu kiseera kino.

Rema asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okulaga nti wadde ali mu laavu, ebintu bisobola okukyuka essaawa yonna.

Ku mukutu ogwo, Rema ataddeyo vidiyo okulaga engeri abasajja gye bawaana abakyala ng’omukwano gukyaliwo kyokka singa gugwawo, bangi tebajjukira bigambo byabwe.

Mu vidiyo, Rema kirabika abadde asindika sigino nti mu kiseera kino wadde Kenzo amuwaana, byonna bisobola okugwawo nga laavu eweddewo.