Omubaka w’ekibuga Mityana Francis Zaake Butebi agiddwako omusango gw’okutoloka mu kadduukulu ka Poliisi omwaka oguwedde ogwa 2018.

Enkya ya leero, omulamuzi wa kkooti esokerwako mu Disitulikiti y’e Arua Swaleh Asiku, agambye nti oludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta obujjulizi obulaga nti Zaake, yatoloka.

Mungeri y’emu agambye nti Zaake yali mu mbeera mbi, nga tasobola kutambula era mu kiseera ekyo, yali tasobola kutoloka.

Mu kkooti era omulamuzi agambye nti wadde Zaake yali akubiddwa, tewali bujjulizi bulaga nti abasirikale abamukwata aba Special Forces Command bebamukuba nga ne mu kiseera ng’ali mu kadduukulu ka Poliisi, baalemesa bannamateeka be okumutuukirira.

Omulamuzi era agambye nti oludda oluwaabi, lulemeddwa okuleeta mu kkooti abasirikale abakwata Zaake era balemwa okutwala ekiwandiiko kyonna mu ddwaaliro ekkulu erya Arua, ekiraga nti Zaake yali mukwate.

Oluvudde mu kkooti, wakati mu ssannyu Zaake atendereza eky’omulamuzi okumuggyako omusango ogubadde gumutwalira obudde okugenda nga mu kkooti.

Ate munnamateeka we Medard Lubega Ssegona agambye nti Zaake okumuggyako omusango, kabonero akalaga nti mu Uganda mukyalimu abalamuzi abalina ensa.

Kinnajjukirwa nti Zaake yakwatibwa nga 13, August, 2018 mu kibuga kye Arua ku bigambibwa nti yali omu kwabo, abakuba emmotoka y’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ejjinja endabirwamu neyiika, kyokka wayita mbale, ebifaananyi bye ne bifuluma nga yakubiddwa.
Oluvanyuma yasangiddwa okumpi n’eddwaaliro e Lubaga ku bigambibwa nti yali atolose mu kadduukulu ka Poliisi.