Omuyimbi Black Skin agamba nti mu Uganda yekka ye muwandiisi w’ennyimba asobola okuwandikira Sheebah Kalungi oluyimba okusanyalaza ekitone kya Cindy Sanyu.
Mu kiseera kino Cindy ne Sheebah balina obutakwatagana mu kisaawe ky’okuyimba nga buli omu avuluga munne nga bwatamanyi kuyimba era empalana yaabwe, buli omu atandiise okufulumya ennyimba ezirumbagana munne.

Mu mbeera eyo, Black Skin agamba nti alina ekitone ky’okuwandiika era Sheebah alina okuddamu okumwesiga okumuwandikira ennyimba okusobola okuvuganya Cindy.
Black Skin yawandikira Sheebah ennyimba omuli Muwe, Akusse, Ndi Wanjawulo, Satani tonkema n’endala era agamba nti Sheebah amutegeera bulungi nnyo.
Black Skin okuva lwe yatandiika okuyimba, manegimenti ya Sheebah yamugyako kontulakiti y’okumuwandikira ennyimba era mu kiseera kino Sheebah talina muwandiisi amanyikiddwa.