Omusuubuzi w’emmotoka Muhammad Ssebuwufu owa Pine ne banne Kkooti Enkulu ebasingisizza emisango okuli okutta, okubba n’okuwamba omusuubuzi Betty Donah Katusabe.

Omusuubuzi Katushabe yattibwa mu October wa 2015 lwa bbanja lya bukadde mwenda (9) nga kigambibwa nti Omugagga Ssebuwufu ne bakanyama be, bamutta olw’okulemwa, okusasula ssente ezo ezaali zibanjibwa.

Enkya ya leero, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Anglin Senoga Flavia, agambye nti obujjulizi obwaletebwa, oludda oluwaabi bulaga nti Ssebuwufu ne banne 7 benyigira mu kutta Katusabe.

Oludda oluwaabi lugamba nti Katushabe bamuggya mu makaage e Bwebajja ku luguudo lwe Ntebbe mu 2015, natwalibwa mu woofiisi ya Ssebuwufu ku Pine mu Kampala, ne bamukuba olw’ebbanja ekyavaako okufa kwe.

Wabula omulamuzi Senoga alagidde Ssebuwufu abadde yayimbulwa ku kakalu ka kkooti, okuddamu akwatibwe ne banne 7 okutwalibwa ku Limanda e Luzira okutuusa nga 1, July, 2019, lw’agenda okubategeeza ekibonerezo kyabwe.