Famire y’omugenzi Ronald Ssebulime baduukidde mu kkooti okuvunaana Minisita omubeezi owa tekinologiya Ida Nantaba ssaako n’abasirikale bana (4) ku misango gy’okutta omuntu waabwe.

Aba Famire nga bakulembeddwamu muganda w’omugenzi Sylvia Nakayita agamba nti Minisita Nantaba avunaanibwa okuwa Poliisi amawulire amakyamu agavaako okutta Ssebulime.

Nakayita ng’akulembeddwamu munnamateeka we Muwanda Nkunyingi, era banokoddeyo ekya Minisita Nantaba okugyema okweyanjula ku Poliisi okuwa sitetimenti ku by’okutta Ssebulime nti kikolwa kya bugyemu.

Minisita Nantaba n'omugenzi Ronald Ssebulime
Minisita Nantaba n’omugenzi Ronald Ssebulime

Mungeri y’emu Nakayita ayagala n’abasirikale bonna okuli police constables Ronald Opiro, Ronald Baganza ne Edward Cherotich bonna okuvunaanibwa mu kkooti emisango gy’okutta muganda we.

Mu kiseera kino, Omusirikale omu yekka Corporal David Ssali yaali mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e Mukono ku misango gy’obutemu wabula Famire y’omugenzi egamba nti n’abasirikale bonna abaali Kabangali ya Poliisi nga Ssebulime attibwa balina emisango kuba balemererwa okutaasa obulamu bw’omuntu.

Nkunyingi agamba nti Minisita Nantaba n’abasirikale bonna, bateekeddwa okukwatibwa mu bwangu kuba bonna balina emisango.

Ssebulime yattibwa nga 24, March, 2019 mu katawuni k’e Nagojje mu disitulikiti y’e Mukono nga yakwattibwa abasirikale n’assibwa ku kabangali ya poliisi ng’ali ku mpingu oluvannyuma n’aggyibwako n’akubwa amasasi emirundi ebiri n’attibwa.

Kigambibwa yali awondera emmotoka ya Minisita Nantaba n’ekigendererwa eky’okumutusaako obulabe.