Poliisi y’e Katwe ekutte omusuubuzi wa sipeeya Gilbert Ngabo ku misango gy’okutunda sipeeya wa Pikipiki agambibwa okuba omubbe.
Ngabo yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu kikwekweeto ekyakulembeddwamu, adduumira Poliisi mu bitundu bye Katwe Afande Ivan Kareiga.
Poliisi egamba nti erudde ng’efuna okwemulugunya ku musuubuzi Ngabo, okwenyigira mu kubba bodaboda n’okutunda sipeeya wa bodaboda ezibiddwa okuva mu batuuze mu bitundu Katwe, Ndeeba, Natete n’ebitundu ebirala.
Mu kikwekweeto, edduuka lya Ngabo mwasangiddwamu ‘number plates’ ez’enjawulo omuli UDJ 810Y, UDJ 942M, UEB 898C, UDX 951E.
number plates endala omuli UDH 634I, UDS 570C, UDV 104M, UDJ 234S, ezasangiddwa okumpi n’edduuka lye era zonna zatwaliddwa ng’ebizibiti.
Ngabo ali ku Poliisi e Katwe ku misango gy’obubbi era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.