Poliisi y’e Rubanda ekutte omukyala 20 ku ky’okusalako omwana we ebitundu by’ekyama.

Kyomuhendo Patience nga mutuuze ku kyalo Kiruruma cell mu ggombolola y’e Bufundi mu Disitulikiti y’e Rubanda yakwattiddwa ku by’okudda ku mwana we, omulenzi myezi 7 Ahereza Ivan namusalako ebitundu by’ekyama.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, omukyala Kyomuhendo okusalako omwana ebitundu by’ekyama, agamba nti bba, yamusuula mu nju okudda mu Kampala okunoonya ensimbi, ng’abadde alina okutta omwana kuba akooye okubonabona.

Omwana atwaliddwa mu ddwaaliro e Kabale wakati mu kaaba olw’obulumi.