Kkkoti ento e Mukono eyisinza ekirangiro eri omubeezi ow’ebyatekinologiya era omubaka omukyala we Kayunga Aidah Erios Nantaba ssaako n’abasirikale basatu (3), okweyanjula mu kkooti ku misango gy’obutemu n’okuwa Poliisi amawulire ag’obulimba.
Okusinzira ku kiwandiko kya kkooti nga kiteekeddwako omukono, omulamuzi akulira kkooti eyo, Juliet Hatanga, Nantaba n’abasirikale omuli Police constables, Ronald Opilo, Ronald Baganza ne Edward Cherotich balina okweyanjula mu kkooti nga 15, July, 2019 ku ssaawa 3 ez’okumakya.
Minisita Nantaba n’abasirikale baguddwako emisango ebbiri (2) omuli ogw’obutemu n’okuwa Poliisi amawulire ag’obulimba, ekyavirako ssemaka Ronald Ssebulime okuttibwa.
Ssebulime yattibwa nga 24, March, 2019 mu katawuni k’e Nagojje mu disitulikiti y’e Mukono ku bigambibwa nti yali awondera emmotoka ya Minisita Nantaba okumutusaako obulabe.
Mu kiseera kino, Omusirikale omu yekka Corporal David Ssali eyakuba amasasi agatta ssebulime yaali mu kkooti e Mukono ku musango gy’obutemu.
