Mu nsi y’omukwano, singa ofuna omuntu ali ku mutima gwo, ebintu bikutambulira bulungi nnyo era y’emu ku nsonga lwaki Zari Hassan alabika bulungi.
Zari alina ssente okwetusaako ebintu eby’enjawulo omuli n’emotooka ez’ebbeeyi kyokka asobodde okutendereza piyano bba gy’amugulidde wakati mu laavu.

Mu ngeri y’okulaga omukwano, Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okusiima bba wakati mu kulaga essanyu, “When Bae buys a piano, look at me“.
Zari wadde ali mu laavu, bba tamanyikiddwa kyokka kigambibwa nti munnansi wa South Africa era y’omu ku basajja abalina ssente ezibayitaba.
Mu kiseera kino Zari alina emyaka 38 n’abaana bataano (5).
https://www.instagram.com/p/BzNvGIYnpmb/