Kyaddaki Omuyimbi Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Jose Chameleone azzeeyo mu kibiina kye ekya Democratic Party (DP).

Sabiti eno Chameleone yawerekeddwako muto we Pius Mayanja amanyikiddwa nga Pallaso ku offiisi za DP ku City House okwongera okweteekeratekera obukulembeze mu 2021.

Ku DP, Chameleone yayaniriziddwa abakulembeze ab’enjawulo omuli Fred Mwesigwa omwogezi wa pulezidenti wa DP, Nobert Mao.

Chameleone ne Pallaso ku DP
Chameleone ne Pallaso ku DP

Chameleone bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire, yagambye nti DP kye kibiina kye era akomyewo awaka okutambuza ebyobufuzi bye.

2021, Chameleone agamba nti ayagala bwa Loodi Meeya era amaliridde okuvuganya Erias Lukwago n’abalala.

Okudda mu DP, kabonero akalaga nti singa afuna obuwagizi bw’ekibiina, kiyinza okumwanguyiza okuwangula obwa Loodi Meeya.