Omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid agudde mu bintu, kitaawe Paul Mutabaazi bw’atutte ensonga ze eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

Mu kiseera kino Fresh Kid y’omu ku bayimbi aboogerwako mu kisaawe ky’okuyimba ku myaka 7, ekimufudde omwana ow’enjawulo ku balala.

Ku lunnaku Olwokutaano, Mutabaazi bwe yabadde ku BBS TV, mu Pulogulamu Sabula, yawereddwa omukisa okusaba ebintu bisatu (3) okuva eri Pulezidenti Museveni kuba asobola okumuyamba mu mbeera zonna.

Mutabaazi yagambye nti ayagala Pulezidenti Museveni amugulire emmotoka ekika kya ‘Harrier Kawundo’, serebu Fresh Kid mwasobola okutambulira.

Mungeri y’emu ayagala Pulezidenti Museveni azimbire mutabani we enju mu bitundu bye Luweero n’okumuwa ssente okutandiika edduuka ly’amassimu mu Kampala.

Mutabaazi agamba nti Pulezidenti Museveni singa amuwa ebintu ebyo, obulamu bwe ne Fresh Kid bukyukira ddala.