Taata Paul Mutabaazi akooye mutabani we Fresh Kid okumulyako eswagga bw’alangiridde nti naye afulumizza oluyimba okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba.
Mutabaazi agamba nti naye musajja muyimbi era alina ennyimba ez’enjawulo era essaawa yonna zigenda kufulumizibwa.
Mungeri y’emu agambye nti ku siteegi, agenda kweyambisa erinnya ‘Don K Bwongo’ kuba ne mutabani we Patrick Ssenyonjo akozesa Fresh Kid.
Mutabaazi era agambye nti ye alina talenti mu kuyimba ne famire yonna era y’emu ku nsonga lwaki mutabani we Fresh Kid afuuse ensonga mu Uganda n’amawanga amalala.