Muto wa Jose Chameleone, Pius Mayanja amanyikiddwa nga Pallaso naye ayingidde ebyobufuzi oluvanyuma lwa mukulu we okulangirira nti 2021 ayagala bwa Loodi Meeya bwa Kampala.
Ssente eziri mu Palamenti, ziwaliriza Pallaso okufuna ekinyegenyege, okulangirira nti naye 2021, ayagala kwesimbawo ku ky’obubaka bwa Palamenti e Kawempe South.
Sabiti ne Chameleone ne Pallaso balabiddwako ku offiisi za Democratic Party (DP) mu Kampala era ensonga zaabwe okwesimbawo mu 2021 zabadde ku mwanjo ddala.
Embeera eriwo eraga nti famire ya Mayanja, emaliridde okwesoga ebyobufuzi okuva mu kuyimba wadde babadde bakoze nnyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba.
Pallaso okwagala ekya Kawempe South, alina okuvuganya Mubarak Munyagwa mu kulonda kwa 2021.