Poliisi ekutte abantu 2 ku by’okuttibwa kw’omusuubuzi omugundivu mu katawuni k’e Mubende.
Jalia Namubiru myaka 48 abadde alina edduuka erisuubuza ebintu eby’enjawulo e Kibaati Ward mu Monisipaali y’e Mubende era yabula sabiti eno ku Lwokuna.
Omulambo gwa Namubiru gwazuuliddwa ku Lwokutaano mu kyalo Muleete mu ggombolola y’e Kitenga mu disitulikiti y’e Mubende.
Poliisi egamba nti ekutte muganda w’omugenzi omulenzi ne bba ku musango gw’obutemu babayambeko mu kunoonyereza ku ttemu eryo.