Mu nsi yonna, omuntu omulungi alina okubaako ebintu by’akola ebimufuula omuntu ow’enjawulo ku balala.
Olunnaku olwaleero, tuwayizaamu n’abantu ab’enjawulo mu Kampala era batubulidde ebintu ebifudde Rema Namakula mukyala wa Eddy Kenzo omukyala omulungi.
1 – Mulungi.
Abantu bagambye nti Rema mukyala mulungi wadde talina kizigo kyonna ku mubiri gwe era babadde bakozesa ekigambo ‘naturally beautiful’.
2 – Ayimba bulungi. Rema ayimba bulungi nnyo era y’emu ku nsonga lwaki mu Uganda y’omu ku bakyala abayimbi abasiinga obuwagizi.
3 – Yeewa ekitiibwa. Mu Uganda, y’omu ku bakyala abeewa ekitiibwa kuba ayambala bulungi, awa omubiri gwe ekitiibwa.
4 – Tali mu ntalo z’abayimbi!
Bannakampala bagamba nti abayimbi balina entalo ez’enjawulo ze balimu kyokka Rema asobodde okwekuumira mu kisaawe ky’okuyimba nga tali mu ntalo.
5 – Mukyala musirise! Bagamba nti Rema alina ebintu bingi nnyo ebimusomooza kyokka asobodde okubikuuma nga byakayama kuba mukyala musirise ku bakyala abalala.