Waliwo abasajja babiri abakwatiddwa nga bano balangibwa  kuvugira pikipiki ku ludda olukyamu mu kiseera mmotoka z’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni wezibadde ziyitirawo.

Abakuuma omukulembeze w’eggwanga bebakutte abasajja bano, nga babakwatidde Zzana  ku lwe Ntebe olwo ne babakwasa Poliisi.

Bano kati bagyiddwa ku Poliisi ye Kirimannyaga webasoose okukuumirwa ne bongerwayo e Kibuye.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Luke Owoyesigyire batandiise okunoonyereza okuzuula ekigendererwa kyabwe lwaki babadde bagaanye okuviira konvoyi ya Pulezidenti Museveni.