Muhammad Ssebuufu ne banne abalala mukaaga (6) kkooti enkulu mu Kampala ebasindise e Luzira  bamaleyo emyaka 40 buli omu.

Kino kiddiridde okusingisibwa emisango omuli okuwamba, okutulugunya n’okutta omusuubuzi Donah Betty Katushabe.

Katushabe yattibwa nga 23, 0ctober, 2015, ku bigambibwa nti yali alemeddwa okusasula Ssebuufu ebbanja lya bukadde 9, zeyali amubanja ku mmotoka gye yali yamuguza.

Omulamuzi Angeline Sennoga owa kkooti enkulu mu Kampala agamba ekibonerezo kino kibe kyakuyiga eri abantu abalala bonna mu ggwanga.

Abalala abasibiddwa emyaka 40 kuliko Paul Tasingika, Shaban Odutu amanyikiddwa nga Golola, Philip Mirambe, Kayiza Godfrey, Yoweri Kitayimbwa ne Damaseni Ssentongo.

Ate dereeva eyakima Katushabe awaka, asibiddwa emyaka 7 kuba y’omu kwabo abenyigira mu musango.

Katushabe yawambibwa okuva mu maka ge n’ateekebwa mu mmotoka UAP 155T era omusaayi gwe gwasangibwa mu mmotoka eyo.

Kigambibwa nti Katusabe yakubirwa ku Pine okutuusa lwe yafa kyokka Ssebuufu mu kwewozaako agamba nti, teyeetaba mu ttemu lino.