Omuyimbi Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr Jose Chameleone yetoonze okulabikira mu luyimba ‘Tubonga Naawe’, mu 2015 olweyambisibwa ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni mu kiseera ng’anoonya akalulu, okuddamu okukwata obukulembeze bw’eggwanga.

Chameleone agamba nti mu kiseera ekyo yali anoonya mugaati (anoonya ssente kuba gwali mulimu) okutambuza obulamu kyokka asobodde okuzuula amazima nti mu Uganda y’omu ku bantu abanyigirizibwa.

Bwe yabadde ku mukolo ng’ekibiina kya Democratic Party (DP) kimukwasa Kaadi y’ekibiina ku Sharing Hall, Nsambya, Kampala, yetondedde bannayuganda bonna okulabikira mu ‘Tubonga Naawe’ kuba yali anoonya ssente era tabangako mmemba wa NRM wadde okuwagira ekibiina mu mbeera yonna.

Chameleone agamba nti 2021 ayagala bwa Loodi Meeya bwa Kampala okuyamba abantu abanyigirizibwa ne DP okukwata obukulembeze bw’eggwanga.

Ebigambo bye, biraga nti yekyangidde ku Bebe Cool kuba abadde alina ekirowoozo nti abayimbi bonna abaali mu ‘Tubonga Naawe’ bawagizi ba Pulezidenti Museveni.

Eddoboozi lya Chameleone