Kyaddaki Poliisi ebikudde ekyama, ekyavirako omuyizi ku Yunivaasite e Kyambogo Robert Asiimwe myaka 23 okutta eyali omusomesa we Emmanuel Mugalula myaka 45 sabiti ewedde.

Assimwe yakwattiddwa ku by’okutta Mugalula omusomesa wa Secondary ku St Charles Lwanga High School ku kyalo Kashekuro, mu ggoombolola y’e Marembo mu District y’e Bushenyi.

Asiimwe okukwattibwa, kyadirira okuyita owa sipensulo okutwala kasasiro eyali ateekeddwa mu ttundubaali

Owa sipensulo yekengera ekyali mu ttundubaali kwekuddukira ku Poliisi era abasirikale okukyekeneenya, kwekusangamu omulambo gwa Mugalula nga yatemeddwaako emikono, amagulu, n’ebitundu ebirala.

Amangu ddala Asiimwe yakwattibwa ku misango ku gy’obutemu.

Wabula okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Polly Namaye, Asiimwe agamba nti yatta omusomesa kuba yali amusindikiriza okwenyigira mu bikolwa ebikyamu.

Namaye agamba nti Poliisi, ekyanoonyereza ku bikolwa ebyo, byagaanye okwatuukiriza.

Kigambibwa omusomesa, yabadde alabirira Asiimwe era okumutta yali agenze kumukyalira.