Bya Nakaayi Rashidah
Poliisi ekutte abantu bana (4) ku misango gy’okupaanga okutta Famire nga beyambisa ebijjambiya, amafuta ga petulooli ssaako ne kalifoomu ku kyalo Bugembe mu ggombolola y’e Ngongwe mu Disitulikiti y’e Buikwe.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Polly Namaye, abatuuze bategeezeza poliisi nti waliwo abantu abatumiddwa okusanyawo famire yonna.
Namaye agamba nti Poliisi yasobodde okweyambisa obukodyo bwayo era abatemu babadde batuuse okusanyawo famire bonna ne bakwatibwa nga balina akadomola ka petulooli liita 4, ebijjambiya ne kalifoomu ku bodaboda namba UEW 306G Bajaj Boxer myufu.
Abakwate kuliko Waiswa Arafat, Tumuhaire Abdulnoor Salim, Tumusiime Nicholus ne Emaka Andrew.
Eddoboozi lya Polly