Bannayuganda okunoonya ssente, kiwaliriza abantu ab’enjawulo okutetenkanya mu ngeri zonna n’okweyambisa amannya g’abantu abalala okunoonya obugaanzi.
Taata w’omuyimbi Ssenyonjo Patrick amanyikiddwa nga Fresh Kid, Paul Mutabazi asazeewo okweyambisa obugaanzi bwa mutabani we naye okutandiika okuyimba.
Mutabazi afulumizza oluyimba Mazike era agamba nti ku siteegi agenda kweyambisa erinnya lya Fresh Daddy oba Don K bwongo, naye okunoonya ssente okwebezaawo.
Wabula wetwogerera ne Kojja wa Fresh Kid naye ayingidde situdiyo era afulumizza oluyimba naange noonya mazike, okuvuganya Fresh Daddy.
Kojja wa Fresh Kid ye Mr Mosh omukozi ku 100.2 Galaxy FM era agamba nti okuyimba kuli mu famire. Ku siteegi agamba nti alina erinnya ‘Fulesi Anko’ naye okunoonya ssente.
https://www.youtube.com/watch?v=UfFF78rNO2M&feature=youtu.be