Omulamuzi Gladys Kamasanyu owa kkooti ya Buganda Road atabukidde mu kkooti, omujjulizi wa Dr Stella Nyanzi asoose Mustapha Mugisa bw’agaanye okuwa obujjulizi.
Dr Nyanzi ali ku misango gy’okuvuma omukulembeze w’eggwanga ng’ayita ku mukutu gwa facebook era enkya ya leero, omujjulizi we abadde asoose Mustapha nga mukugu ku bya tekinologiya, ategezeza omulamuzi nti tayinza kuwa bujjulizi nga tebanaba kumutegeeza ku musango.
Mustapha agamba nti balina okumutegeeza omusango okuzuula engeri gye gutambulamu nga tanaba kuwa bujjulizi.
Wabula munnamateeka wa Dr Nyanzi, Isaac Ssemakadde yewunyiza omukozi wa Gavumenti Mustapha okulemwa okuyamba ku mirimu gya kkooti, nga yekwasa obusonga obutaliimu.
Omulamuzi Kamasanyu atabukidde Munnamateeka Ssemakadde ne Dr Stella Nyanzi, okomya okuleeta mu kkooti abantu okuwa obujjulizi, nga tebanaba kwetekateeka.
Omulamuzi agambye nti buvunaanyizibwa bw’oludda oluwawabirwa okutekateeka abajjulizi okusinga okulinda oludda oluwaabi okubayambako.
Omusango guddamu olunnaku olw’enkya era Dr Nyanzi aziddwa ku limanda wakati mu byokwerinda.
Kinajjukirwa nti sabiti ewedde omulamuzi y’omu yalemesa Nyanzi okuleeta mu kkooti omukulembeze w’eggwanga, okunnyonnyola, engeri Nyanzi ebigambo bye ku “Facebook” gye byamunyiiza.
Abajjulizi abalala abalindiriddwa kuliko akulira bambega mu kitongole ekya poliisi Grace Akullo, Munnadiini Fr. Gaetano Batanyenda, omumbejja Solome Nakaweesi, Polof. Suzan Kiguli, Polof. Slyivia Tamale Dr Ronald Kakungulu Mayambala, Eng Frank Kitumba, Dr Sylvester Kahyana, Dr James Ociti, Dr Susan Kiguli, ne Prof Abas Kiyimba.
N’abalala Prof Fredrick Jjuuko, Allan Tacca, Solome Nakaweesi, Bishop Zac David Niringiye, Father Gaetano Batanyenda ne Mildred Apenyo muwala w’oludda oluwaabi Charles Dalton Opwonya.
Nyanzi abadde mu kkomera okuva November 2018 era yagaana okusaba okumweyimirira. Oludda oluwaabi lugamba nti nga 16 , September, 2016 Nyanzi yakozesa omukutu gwe ogwa Facebook bwe yawandiikako ebigambo ebyali bityoboola ekitiibwa Pulezidenti Museveni ne maama we omugenzi Esiteri Kokundeka.