Omusirikale Baker Bua asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 17.

Omulamuzi mu kkooti e Nakawa Agnes Alum, asindise Bua ku limanda okutuusa nga 22, July, 2019.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 28, June, 2019 mu Balakisi y’e Naguru-Ntinda, omusirikale Bua yasobya ku mwana wa mukwano gwe, eyali asindikiddwa okulongoosa enju ye.

Omusirikale Bua, mukozi mu kitongole kya Poliisi ekya tekinologiya era yakwatibwa basirikale banne amangu ddala nga yakasobya ku mwana.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Pamela Orongot lusabye omulamuzi okubongera obudde okomekerezza okunoonyereza kwaabwe, ekiwaliriza omulamuzi okusindika Bua ku limanda.