Omuyimbi Full Figure atabukidde omubaka w’ekibuga kye Mukono Betty Nambooze Bakireke lwa nsonga za Dr Jose Chameleone.

Sabiti ewedde, Chameleone yegatta ku kibiina kya Democratic Party (DP) mu butongole era naweebwa kaadi y’ekibiina ku mukolo ogwali ku Sharing Hall e Nsambya n’okuweebwa ekifo mu kibiina nga ssaabakunzi wa DP.

Wabula abamu ku bannakibiina kya DP abagundivu omuli Nambooze bagamba nti Pulezidenti w’ekibiina Norbert Mao yakola nsobi okuwa Chameleone obwa ssaabakunzi bwa DP nga yakayingira mu kibiina kuba tanaba kutegeera bikwata ku kibiina.

Ku nsonga eyo, Full Figure atabukidde Nambooze era agambye nti y’omu ku bannabyabufuzi bannakyemalira kuba naye aludde nnyo mu Palamenti.

Mungeri y’emu agambye nti abantu bonna balina okwegatta okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga lyabwe era yewunyiza nnyo Nambooze okulumbagana Chameleone eyavuddeyo okuyamba bannayuganda okufuna enkyukakyuka.

Full Figure era agamba nti Nambooze ayinza okuba nga yafuuwa nnyo emmindi obwongo ne bwonooneka era alina okukomya okwogera ‘nonsense’.

Vidiyo ya Sanyuka TV