Ettaka libuutikidde abasajja babiri (2) ababadde basima kabuyonjo ne bafiirawo.

Entiisa ebadde ku ssomero lya Mt. Gallie Primary School mu Divizoni y’e Nyenga mu Monisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Poliisi egamba nti abafudde kuliko Joseph  Wakungu amanyikiddwa nga Anyinyi ne George Okadapawo nga bonna babadde batuuze ku kyalo Buwampa  Cell mu Divizoni y’e Nyenga.

Kawonawo Charles Ssenkayi, agamba nti mikwano gye okusima kabuyonjo nga enkuba yakamala okutonya, kinafuyiza ettaka ekivuddeko okubabutikira.